What's hot

Abaana tubalage  eŋŋanda twewale amawano.

Table of Content

Ensangi zino abantu batono nnyo abafaayo okulaga abaana aboluganda babwe abasuka ku taata ne maama. Abafunyeeko omukisa wesanga nga bakoma kubalaga bajjajja wamu n’emikwano emitono egibeetolodde kyokka omusaayi gwabwe omulala nebatagumanya.

Tusaane tukimanye nti omwana bwaazalibwa abeera afuuse wa misaayi ebiri (ogwakitaawe wamu n’ogwanyina) era enjuyi ezo ebbiri zimulinako obuvunanyibwa bwa kyenkanyi okulaba nga akula bulungi era bwanatuuka mu nsi enju ezo taliziswaaza mu bantu.

Okusobola okunyweza kino bajjajja ffe bafubanga nnyo okulaba ng’abaana babatambuza mu ŋŋanda enjuyi zombie olwo ne basobola okumanyibwa obulungi era nange nzijjukira bulungi mukukula kwange ng’omukadde omulungi Nalukenge Margaret buli luwumula atuwereeza mu b’oluganda abatali bamu. Oluwumula olumu bweyatutwalanga ku ludda lwa ssebo , oluddako nga tudda ebukojja.

Abamu bwebataakolanga ekyo ng’oluusi batambulanga n’abaana ku mikolo egitali gimu okwabeeranga abeŋŋanda okugeza enyimbe n’embaga okwo kwebassanga n’okutegekanga emikolo gy’okumanyagana wakiri buli nkomerero y’omwaka okumanya abaana abayongeddwako ku famire zaffe.

Abaana okutambuza mu famire ezafe nga n’obukojja tetubusudde tekwalinga kubalagayo ab’ekika bakutende nga bwewazaala abaana abalungi oba abangi wabula kyalingamu ebintu ebirala ebisuka kukumanya ekika kyo era nga ekimu ekikulu kwekwalinga nga okwewala abantu aberinako oluganda okwesanga nga bafumbiriganiddwa wamu n’okusobozesa omwana okukula nga afunye obukugu n’okugunjulwa okwenjawulo kubanga tukimanyi bulungi nti buli muntu alina ekitone ekyenjawulo kyayinza okugabanyizako abalala.

Ensi gyekomye okukyuuka/okukulakulana abantu bafunye endoowoza enafu nti okubeera ow’omulembe olina kuddibya mpisa z’abajjaja bo  neberabira nti toyinza kumanya gyolaga nga totegedde gyovva. Ekivudde mu kino  kwekwesanga wakati mu kukola ensobi ezitali ngenderere, okuweebuka wamu n’okuswaala era n’okuswazibwa.

Ekyewunyisa bwotunulira ensonga ezitugaana okuwereeza abaana mu ŋŋanda zaffe ow’enjogera enyangu aziyita zakyewusa anti abantu basinze kutunnulira mbeera zabwe ne bazigeregeranya n’ezo ezabantu banabwe. Oli bwabeera nga alinamu ku ssente , abaana abakuliza ku migaati, sukaali, basomera mu bisulu alabira ddala nga abaana okubawereeza mu kyaalo abeera ababonyabonya .Abalala bakulembeza  buyigirize era alaba tayinza bawereza   mu kyalo gyebatayogera luzungu  wadde okulaba terefayina n’ensonga endala ezitalimu nsa……………………

Embeera eyo wetusiza  famire ezimu balifa bakirojja!!!!!!!!

Omulenzi omu yasisinkana omuwala eyo ku mulimu gyebali bakolera era mu bbanga ttono besanga nga omuwala afunye ettu lya Mugema. Abazadde b’omuwala baamuteeka ku nninga aleete omulenzi nanyini lubuto asobole okumugya ku lujja  kubanga amaka gabwe gaali makkiriza kale nga muwala wabwe okununira olubuto ku luggya kyaali kyabuswavu.

Olunaku lwakya omulenzi neyesa mu ddene agende abuuze ku bakadde b’omuwala. Akaseera katuuka  ow’obulenzi nayanjulwa ebikwata ku buzaale bwe bagenda okukoona ku kitaawe nga mwanyina wa maama w’omuwala ,mubufunze   ng’omuwala gwaleese ‘kojja we’. Abazadde bombi babatabukako nebatandika okwetunulira wamu n’abanywanyi bebaali bayise okubaaniririzako abagenyi . manya mu kiseera kino bano baali tebakyasobola kweyongerayo n’obufumbo wadde nga omuwala yali yazitowa dda. Kale webuuze okola otya?

Ogyamu lubuto oba oluleka? Ye abaaye omwana bwazalibwa obukojja bwe bubeera wa?

Omuvubuka omu yali avuga emottoka natomeregana ne musajja mukulu omu. Olwokuba omuvubuka ono yali wamaanyi mu nsawo wadde yeyali mu nsobi yavuvuba musajja mukulu nga yeyabisa ssente okugulirira omusirikale w’ebidduka eyali akola ku nsonga zabwe era ng’omuntu anyigiziddwa waliwo ko  okuwanyisiganya ebisongovvu mu ngeri emu oba endala.

Liba teriri busa taata w’omulenzi ono ngamusaba amukimeko amutwaleko mu lumbe ku mutala ogumu. Ng’omuzadde owobuvanyizibwa ekiseera kyatuuka natandika okumulaga abantu ab’enjawulo era eno gyebaagwira ku musajja mukulu eddenzi gweryajolonga oluvanyuma lwokumutomera.

Eddenzi balitegeeza nti musajja mukulu ono yali jjajja ow’olunyiriri mwe liva. Eddenzi ebigambo byalikalira kumumwa kuba n’okubuuza kwagaana. Abaaliwo bebuuza ekireese akabasa era musajja mukulu naza munne ebbaali nalumuviira ku ntono era gyebyagweera ng’omulenzi yetonze wamu n’okutanzibwa jjaja we.

Ebyo no bitino nnyo kuggwe byoyisemu era byewali olabye n’okuwulirako. Tukole ebituufu mu budde obutuffu twewale okuwala.

Wangaala ayi Ssabaasajja

Omuwandiisi  musomesa era muluŋŋamya wa mikolo

andrewzziwa2023@gmail.com

0702740754

Tags :

admin

Related Posts

Must Read

Popular Posts

Get in Touch

© Copyright 2024 by SWASS Multi-Services