-Okukyala okutuufu kubeera wa ssenga
-Omuwendo oguwerekera omuko gulina okuba nga gugya mu nju.
Abantu abaagalana bwe batuusa okulongoosa oba okunyweza obufumbo bwabwe, waliwo emitendera egiyitibwamu okutuuka lwe batuuka mu maaso g’abasumba.
Omukolo omukulu ogusookera ddala gwe gw’okukyala nga guno gubeera wa ssenga w’omwana omuwala, kitaawe gw’abeera alonzeeyo mu banyina abangi b’abeera alina era omukolo guno gubeera mu maka ga ssenga gy’abeera.
Omuntu yenna okulondebwa okubeera ssenga waabeerangawo ebyatunuulirwanga okusingira ddala empisa n’obuvunaanyizibwa mu bantu n’abooluganda era emirundi egisinga yalinanga kubeera mufumbo anaasobola okubuulirira omwana omuwala ku by’obufumbo nga ddala alina ky’abumanyiiko.
Okugenda ewa ssenga y’ebeera entandikwa y’omwana omulenzi okumanya abooluganda lwa mwana munne kubanga okumanya ssenga obeera ofunye olujegere olukugatta ku kika ky’omuwala.
Nazzikuno ng’enteekateeka y’okukyalira ssenga ebeera ya bantu batono nnyo nnyini ddala anti oludda lw’omwana omulenzi lwalondagayo abantu batono ate nga ba mu nju okugeza omwana omulenzi akyala, mwanyina n’abooluganda abalala nga tewali kukombooza wabweru wa nnyumba yaabwe.
Mu ngeri y’emu ne wa ssenga nayo twasangangayo ssenga, bba wamu ne baganda b’omwana omuwala akyaza omulenzi n’abenju eno abalala abasaamusaamu. Omuwendo gw’abantu abaabeeranga ku mukolo guno ku njuuyi zombi gwalinanga okubeera nga gusobola bulungi okugya mu nnyumba ya ssenga abakyazizza ky’ova olaba twakuyitanga okutta ekyama kubanga ensonga yabeerangamu ba mu nju bokka.
Omwana omulenzi n’abenju ye okusituka okugenda ewa ssenga baabeeranga bamaze okweteekateeka bulungi ku nsonga y’okweyongerayo ewa taata nabwekityo ebbaluwa egenda ewa taata esaba okuzaalibwa /okwanjulwa y’emu ku bintu ebikulu by’atalekanga ng’agenda mu lugendo luno.
Wadde nga ebyo biri bityo ensangi zino buli omu kyasanga ky’akola awatali kufa ku makulu ga nsonga etukozesa emikolo gino. Ekyewuunyisa nti n’abantu abattuludde mu myaka be wandirowoozezza nti be twandyebuuzizzaako ebyensonga nabo tebalina kye bamanyi oba bamanyi naye ne basalawo busazi okukola gadibengalye……
Bataata abazaala abaana abawala omululu gubawala tebakyakkiriza baana kutwala baami baabwe mu maka ga bassenga wabula kati bassenge be basituka ne tubasanga mu maka ga banyinaabwe gye batwaniririza mu mikolo egibeera mu bidaala nga n’endongo esindogoma.
Olw’okuba abaana aboobulenzi nabo ebintu bye batwala mu bassenga bibeera bingi bulala, bataata batandika okufuna enge ku mitima nga balabanga banyinaabwe ebintu ebibaweebwa mu bungi butyo tebabikolerera nebeerabira nti, “Abalirira ezigula enkumbi…….. “
Aboobuwala okukyala bakufudde mukolo gwa misono, beeyisanga abalina be bavuganya; engoye bazikyusa emirundi egisukka mu ebiri, ne bayita buli mukwano gwabwe ate alina okubeera mbu nga alabika bulungi olumu n’abeŋŋanda ne babaleka emabega nti basiiwuufu tebajja kunyumira mu bifaananyi. Era mu buufu bwebumu balekawo bassenga baabwe ab’omusaayi ne bapangisa abooku kkubo wamu n’okupangisa amayumba n’ebifo ebisanyukirwamu olw’okubeera nti binyirivu we babeera bakolera emikolo gino. Yiiiii tunuulira amalala gye gatusudde!
Abaana aboobulenzi nabo abakyala omukolo baagufuula gwakinyumu anti bagenda nabuli omu gwe basanze abamanyi awatali kwefumiitiriza ku bukulu n’amakulu ga kugenda wa ssenga.
Embeera eno tekomye kutusera anti olumaliriza emikolo ng’ababadde mu mukwano nga basiikuuka nga nnyanja wabula era ereetedde abavubuka bangi, okutya okuwasa wamu n’okugenda mu bazadde nga balowooza nti ensonga nga zino zikolebwa babinojjo bokka ate n’abo abawaliriza okukola okusukka mu busobozi bwabwe, baggweera mu mabanja awo emirembe mu maka gaabwe ne gibuliramu ddala.
Kale nno nsaba tukole omukolo gw’okukyala nga tumaze bulungi okumanya obulungi amakulu gaagwo ate nga tugoberera Obuwangwa n’Ennono zaffe olwo lwe tujja okuganyulwamu.
Bya Zziwa Andrew
Muluŋamya wa mikolo
0702740754