What's hot

Latest News

Ensinza yaffe ey’ennono n’obuwangwa tetemula bantu.

Ku mulembe guno ensinza y’abaganda ey’ennono n’obuwangwa eri mukusomozebwa olw’abo abasubirwa  okubeera nti kwetambulira okukola ob okweyisa mu ngeri etali ku mulamwa wadde amateeka agafuga kuno. Tusaana tukimanye nti abaminsani nga tebanajja mu Uganda mu mwaka  gwa 1877  wamu n’abawalabu mu 1844, abaganda twalina ensinza yaffe era nga eno yatambuliranga ku musingi gw’enju, oluggya, olunyiriri,...
Read more

Tuzzeewo amakulu g’okukyala

-Okukyala okutuufu kubeera wa ssenga -Omuwendo oguwerekera omuko gulina okuba nga gugya mu nju. Abantu abaagalana bwe batuusa okulongoosa  oba okunyweza obufumbo bwabwe, waliwo emitendera egiyitibwamu okutuuka lwe batuuka mu maaso g’abasumba. Omukolo omukulu ogusookera ddala gwe  gw’okukyala nga guno gubeera wa ssenga w’omwana omuwala, kitaawe gw’abeera alonzeeyo mu banyina abangi b’abeera alina era omukolo...
Read more

Abaana tubalage  eŋŋanda twewale amawano.

Ensangi zino abantu batono nnyo abafaayo okulaga abaana aboluganda babwe abasuka ku taata ne maama. Abafunyeeko omukisa wesanga nga bakoma kubalaga bajjajja wamu n’emikwano emitono egibeetolodde kyokka omusaayi gwabwe omulala nebatagumanya. Tusaane tukimanye nti omwana bwaazalibwa abeera afuuse wa misaayi ebiri (ogwakitaawe wamu n’ogwanyina) era enjuyi ezo ebbiri zimulinako obuvunanyibwa bwa kyenkanyi okulaba nga akula...
Read more

Kyamakulu okunonyereza gyetuwasa oba gyetufumbirwa

Bajjajaffe ezimu ku nsonga enkulu ze basangako ebirowoozo n’essira kwekuwasa oba okufumbiza abaana abawala. Omwana yenna bweyawezanga emyaka 18 egy’obukulu (kabeere mulenzi oba muwala) abakulu ku kyalo oba mu kitundu yonna gyewangaliranga batandika omutunuliza eriiso ejjogi. Mu mbeera eno ababeeranga n’abaana ab’obuwala abatuuse okuva ku lugya baatandikanga okutunulira amaka omuli abaana abalenzi abatuuse okuwasa balabe...
Read more

Ssemaka Alina Kusikirwa Muzukkulu We

Nazikuno ne leerong’omuntu omukulu bwaffa wano mu Buganda naddala nga afudde alese ezadde twamwabiza olumbe. Nga  emikolo emirala egy’obuwangwa n’ennono olumbe okutuuka okwabizibwa wabeerawo emitendera egiyitibwamu okusobola okulaba ng’ensonga eno etuukirira. Ogumu omutendera oguyitibwamu gwe gw’okutambuza olumbe. Mu kino ab’enju omugenzi mwava besitula ne bagenda mu bakulu mu kika nebabategeza nti muzzukulu wabwe gundi yafa...
Read more

Must Read

Popular Posts

Get in Touch

© Copyright 2024 by SWASS Multi-Services