Ku mulembe guno ensinza y’abaganda ey’ennono n’obuwangwa eri mukusomozebwa olw’abo abasubirwa okubeera nti kwetambulira okukola ob okweyisa mu ngeri etali ku mulamwa wadde amateeka agafuga kuno.
Tusaana tukimanye nti abaminsani nga tebanajja mu Uganda mu mwaka gwa 1877 wamu n’abawalabu mu 1844, abaganda twalina ensinza yaffe era nga eno yatambuliranga ku musingi gw’enju, oluggya, olunyiriri, essiga, omutuba okutuukira ddala ku kasolya era nga enno embuga oba essabo/essabiro eryabeeranga ku mutendera gw’akasolya lyelyayitibwanga lutiiko.
Olwenteekateeka gyetwalina nga abaganda abaminsani nabo mukuzimbira eddiina yabwe eya Kristu omusinji baakoppa enteekateeka eno anti batantikira ku maka-ebisomesa okutuukira ddala ku lutiiko.
Tusaana tukimanye nti ennono oba ensinza y’Abaganda yetoloolera oba efugibwa; Abalongo, Emizimu, Emisambwa,Amayembe wamu ne Lubaale mu lulimi olwawamu betuyita empewo z’ekika. Gino gyonna myoyo egiva mu bajjajjaffe nga bamaze okuva mu bulamu bw’ensi era olw’okwongerayo ennono oba ensinza eno buli abadde atambulizibwako ennono eno oba atulwako /ayogererwako empewo zino lwaffa ab’enju oba ekika mwava bafuna obubaka okuyita mukulosebwa oba eddoboozi okwogerera ku w’ekika ekyo nga bakuŋŋanye ku ani alina okuwebwa ekifundikwa obwa obwakabona okwongerayo ennono eno.
Bakyeruppe bwebajja kuno okwaffe balafubana nnyo okulaba nga bakuyuusa eddowooza yaffe okutuggya ku nsinza yaffe ey’ennono nga batulaga nga bweri eyasitaani era ey’ekizikiza. Abawugulwa endowooza eno bangi bagenda mu maaso nebasanyawo amasinzizo gaffe ag’ennono nga bagokya wano n’okugakoona ne gagwa ku ddimwa nga balowooza nti olwo babeera bagisanyizaawo nga berabidde nti bwoyokya essabo ne ebiribeeramu gamba ng’embugo, amafumu, ensumbi, ensimbi n’ebirala obeera toyokeza Mpewo zamwe wabula obeera oyokeza bikozesebwa byazo era zzo zisigala mu bwetwaaze oba mu bbanga era zisigala zibanja ebyo byezagala okuva mu nju okutuuka ku kasolya.
Mu nsinza yaffe mulimu okuwayo ssaddaaka era nga zino zibeera za bisolo nga ente, embuzzi, endiga wamu n’enkoko era omuntu omwavu wakiri nga awaayo ebyoya by’ensolo yonna eyabeeranga emusabiddwa era ono nga ayitibwa omwavu mpongabyoya.
Ensi bweze ekula nga n’amawanga geetabikiriza abantu abamu kwekutandika okutabikiriza ebintu ebitali bimu mu nsinza yaffe nga bakola ebitakwatagana n’emikolo egitambuliramu.
Omuntu yenna atta muntu munne nga yerimbika mu kukola ssaddaaka eryo libeera ttemu era lirina kuvunanibwa mu mateeka era n’omukono ogw’amaanyi kuba ekyo tekiri mu ddiini y’Abaganda ey’ennono era tekirifunamu kifo.
Nga ogyeko omululu gwa ssente ogwajja mu bantu embuga z’ebika abazukulu bagendangayo okuyambibwako ensonga zabwe awatali bukwakulizo nakusabibwa musimbi gutasoboka wabula bagendangayo okukuma ku byotto, okugabula omwenge, enyama n’okunaaba ku byogo/eddagala okulaba nga ebikutte bita. Emirundi egisinga abazukulu baddangako eka nga bamaze kufuna bubaka ku kiki gyebalina okukola nga batuuse mu mbuga sikuferebwa abazitulamu abenoonyeza ebyabwe nga batunulidde okubakamulamu omusimbi.
Ekyenyamiza nti n’abakulu b’ebika abandyagasiza abazukulu okunyweza ensinza yaffe abasing tebamanyi kyakukola ate abandi bakalubiriza abazzukulu ababeera bewaddeyo nga babaterawo obukwakulizo obutali bumu nga batuuse mu bifo by’ebika wamu n’okubasolozaamu ensimbi ezitawa makulu nebakalubirirwa sinakindi ne babivaako.
Tusaana tukimanye nti ekituyisa abazzukulu mu nsinza y’ennono kwekubeera nti amasinzizo g’obuwangwa gazimbibwa ku mutendera okwazibibwa ebika mu Buganda kale nga omuzukkulu bwajjayo abeera aze wabwe era yandibadde ayanirizibwa awatali bukwakulizo.
Tunyweze ennono n’obuwangwa bwaffe mu ngeri entuufu etalumya balala kubanga etambulira ku ffe era terivaawo.
Zziwa Andrew
Munoonyereza /muluŋŋamya wa mikolo
andrewzziwa2023@gmail.com