What's hot

Kyamakulu okunonyereza gyetuwasa oba gyetufumbirwa

Table of Content

Bajjajaffe ezimu ku nsonga enkulu ze basangako ebirowoozo n’essira kwekuwasa oba okufumbiza abaana abawala. Omwana yenna bweyawezanga emyaka 18 egy’obukulu (kabeere mulenzi oba muwala) abakulu ku kyalo oba mu kitundu yonna gyewangaliranga batandika omutunuliza eriiso ejjogi.

Mu mbeera eno ababeeranga n’abaana ab’obuwala abatuuse okuva ku lugya baatandikanga okutunulira amaka omuli abaana abalenzi abatuuse okuwasa balabe nga bafunamu abajja bawala babwe ku mpya.

Bwegutyo batandikanga okunoonyereza ku bikwata ku famire gyebatuniridde okumanya ebigikwatako ebitali bimu ebyatunulirwanga empagi okuyinza okuzimbirwa amaka . Munno mwalinga mu okukakasa oba enju abaana bamu bawasa oba bafumbirwa, tebalinaamu ndwadde yonna yalukonvuba, tebaliimu bya kalogokalenzi, ssi basezi, tebalimu ngalo wadde embaliga, tebaliimu kizaalaggumba, amakiro, abawala si bamumwa, tebanobanoba wadde okututunza abakazi n’ebirala.

Mu buufu bwebumu n’abazadde b’abaana abalenzi  nabo bafunanga amaka omuli abaana ab’obuwala bebagwanyiza batabani babwe okuwasa ne bagatunulako era nabo nebaganonyerezako. Bwewaatabangawo muziziko gwonna oba ensonga etagumikirizika awo abazadde ab’oludda olweyagaliza basitukanga ne bagenda basisinkana bakulu banabwe ne babawa ekirowoozo era nga abazadde bwebakaanya awo ng’abaana bategekebwa okusisinkana oba okutandika enteekateeka z’obufumbo.

Buli ludda lwatuuzanga omwana wabwe ne bongera okumubulirira wamu n’okumubangula ku buvunanyizibwabwe  mu bufumbo , okusomooza okubolekedde na butya bwebayinza okuvunnuka ssinga kubatomera.

Olwokuba enteekateeka y’obufumbo eno yabeerangamu abazadde n’abaana abafumbirwagana babuwanga ekitiibwa era nga balina kyebaswalira bwebatyo banywererangayo nga era ensonga obunobya wamu n’okwawula abafumbo ennaku zino bbo babulabanga busonga songa.

Ensangi zino tulaba nga abafumbirwa bangi kyokka ate emisinde kwebewasiza gyenkana sinakindi okusinga ku misinde kwebawukanira ekireesewo obwanakyeyombekedde obungi ku myaka emito era ng’obufumbo bangi kati bubawunyira zziizi.

Nga bwebagamba nti obuzibu tebubula musombi…….ekimu ku nsonga lwaki ebintu biri bityo kwekubeera nti abafumbirwa n’abawasa ku bombi tekukyaali amanyi makulu ga bufumbo anti balowooza obufumbo kusisinkana wonna wemwesimidde nemutandika okubeera awamu ne mukola emikolo gy’obuwangwa okunyweeza obufumbo omuli okukyala , okwanjula sinakindi paka mu masinzizo mu bakabono.

Emisinde ensonga zino gyekwatibwamu ensangi zino miyitirivu tebawawo mwaganya gwonna ku njuyi zombi kukola kunonyereza kumala ku bikwata ku bagalwa babwe ate nga nabazadde naddala abazaala abawala engaba gyebagabayo abaana babwe babeeranga ababegobako wamu n’okutunulira ebiretebwa oba ebinaletebwa ku lunaku lw’okwanjula tebakyafaayo wa baana babwe gyebawasa wadde okufumbirwa.

Bwewetegereza ebiviriddeko obufumbo bwensangi zino okusasika ebizibu ebisinga biva ku nsibuko z’abaana abawala n’abalenzi anti “ensibambi………………………….”

Abaana abalenzi bangi bafunye endowooza enfu nti bwokyala oba bwosasula omukazi ewabwe olwo oba okimaze nebatatunulira byafaayo byapya mwebawasa era era olumala okwanjula nga obufumbo bubafukira ekyambika anti nga baana bawala batandika okubafuukira ekyambika. Nze omusango ngusa ku mwe abalowooza nti buli ekitemagana abeera zaabu ………….

Kale bwolaba nga gwolina atandise okugulumbya wewe obudde otte ku bigere oddeyo ofube nga bwosobola omanye ekiri ewabwe ng’emyaka teginakuyitako era bwosanga nga ebyafaayo tebiwomesa nakabulu nkuwagabuwa oyo mwesonyiwe kubanga ebimusumbuwa nawe ebikusumbuyisa bimuli mu musaayi kale toyinza kubikyuusa okugyako okwerumya omutwe n’okwemalako egya Nakakawa.

Kale nkubira mbasaba nga tetunagenda nnyo wala mu mukwano n’abo betusiimye era betwagala okuwasa tuweeyo nnyo obudde tumanye ebyafaayo by’ensibuko zabwe nga tetunagwa mu ntanta wamu n’okuzaala mu famire ezijjudde amawano n’okuleeta ebinjirinjiri mu misaayi gyamwe nga musikiriziddwa obulungi bwe byeenyi nga mwerabidde nti abalungi mbwa za Namaaso…………………..

Wangaala ayi Ssabaasajja

Omuwandiisi  musomesa era muluŋŋamya wa mikolo

andrewzziwa2023@gmail.com

0702740754

Tags :

admin

Related Posts

Must Read

Popular Posts

Get in Touch

© Copyright 2024 by SWASS Multi-Services