What's hot

Okutegeka okwanjula kwa njuyi zombi

Table of Content

Embaga ya mwami.

Ensangi zino waliwo embeera eyeyeyolekedde ennyo mu nteekateeka oba okutegeka emikolo egy’okwanjula n’okwanjulwa. Tusaana tukimanye nti omwana omulenzi bwaba amaze okukwatagana n’omwana omuwala era ne bakaanya ensonga bazitwaale mu bazadde, wano ewaffe mu Buganda   tutandikira wa Ssenga era omwana omulenzi gwakwasa ebbaluwa era ennaku zasaba okugenda ewa taata.

Ebimu ku bintu ebikulu ebibeera mu bbaluwa eyo kwekuli ennaku z’omukolo, omuwendo gw’abantu n’essaawa zebasubira okutuuka.

Amakulu agali mukuwandiika ebbaluwa eno kwekuusa ekitiibwa mu bakadde b’omuwala naye ekisinga obukulu kwekubawa ekifanaayi ky’enteekateeka y’olunaku. Obuvunanyizibwa bwokukakasa byonna ebitekeddwa mu bbaluwa eyo bibeera eri taata w’omuwala wamu ne famire. Bwebamala okwekeneenya ebiri mu bbaluwa wamu n’okuppima obusobozi bwabwe okutegeka n’okwetegekera abaganye abagenda okubakyalira wamu n’abalala ku luuyi lwabwe bebagenda okuyita awo nno baddamu ebbaluwa y’omulenzi okukakasa okusaba kwe kweyayeeka mu bbaluwa oba okukyuusamu ku byateekebwamu bbaluwa naddala ennaku z’omwezi n’omuwendo gw’abantu omulenzi beyasaba okujja nabo.

Wadde nga ebyo biri bityo embeera bwetugisuubira si bwebiri muntambuza y’emikolo anti abazadde b’abaana abawala ensonga ezikwatagana n’okutegeka emikolo gino ekyamazima akazito kkona balese mu mikono gy’abaana abalenzi wamu ne famire zabwe.

Twesanze nga abazadde abamu nga bayita mu baana babwe abawala banyigiriza abaana abalenzi nga buli kimu bakibasaba era basajja-battu  wakati mu kunyigirizibwa mu mukwano besanga bekase okugezako okukakasa nga bwe balina obusobozi ekibalese mu mabanja wamu n’entalo oluvanyuma lw’emikolo.

 

Abange kuva ddi nga abazaala abawala abaana ab’obulenzi bebabazimbira enju kubanga bajjakukima bawala bamwe? Ekyo twandikitadde ku bbali naye ate ne mulemwa okutegeka ewamwe abaana ab’obulenzi ne mubasolozaamu ssente ez’okubangisa ebifo webagenda okubakyaliza?

Omuganda agamba nti ekiweebula omugagga kutanaka ntula……kale ddala nga tumaze okweyisa mu mbeera eyekikopi bwetti onkakakasa otya nti omwana omulenzi wamu n’abenju ye oludda lw’omuwala banalussamu batya ekitiibwa nga tweweebula  bwetutyo!

Ndowooza essaawa yenno abantu naddala abafumbiza abaana bamanye amakulu g’emikolo gino ag’omunda basuke kukugiraba nga omukisa gw’okweyozaako ennaku n’ekinyumu. Nkakasa nti abazadde bwebanategeera amakulu agali mu mikolo gy’okwanjuza abaana bajja kusobola bulungi okuyigiriza abaana babwe.

 

Tekiriimu nsobi yonna taata w’omwana omuwala okuwabula ow’obulenzi ku muwendo gw’abantu balina okutambula nabo ssinga babeera anasobola okusembeza n’abenju ye.

 Omuko mu nkola entuufu etaliimu kunyunyunta bwabeera wakukwasizako ludda lwa mukyalawe ku mukolo gw’okwanjula yanditunulidde okwambala kwa mukwano ggwe wamu n’ebyokumukolako ku mukolo asobole okunyirira n’omutemwa omusasaamu ssinga omuko mukaanya nga omuwendo gw’abantu bwamugambye okujja nabo asabye okkirize agusuusemu.

 

Ku ludda olulala omukolo ogw’embaga gwo gubeera gwa mwana mulenzi kyovva olaba yagaba ennaku wewaawo era nga omuzadde oba abazadde ku njuyi zombi ezizaala abaana bano babakwasizaako wadde era nga oludda lw’omulenzi lwelukwasaganya ebisinga obungi mu nteekateeka yonna ku lunaku luno.

 

Kale nno tusaana tuwabule abaana baffe abategeka emikolo tusaana tubaluŋŋamye kun kola entuufu balemu kumaliriza mikolo gino nga beyaguza lujjo kubanga  giggwa mu lunaku lumu kyokka nga obufumbo bwebayingiddemu bujja n’obwetaavu bungi ate nabwo nga bwetololera nnyo ku mwana omulenzi okuli okuzimba amaka,okuliisa ab’enju ye n’okubasakira mu ngeri yonna esoboka kale okuteekawo  embeera ebakozesa emikolo egitagya mu busobozi bwabwe tubeera tukotogedde ebiseera byabwe ebyomumaaso.

 

Abaana ab’obulenzi nva waggulu nga  mbasaba mukole emikolo egigwa  mu busobozi bwamwe n’enfuna yamwe era mukolere mu biseera ebituufu awatali kupapiriza olwo  lwemujja okunyumirwa obufumbo bwemugendamu.

 

 

Bya Zziwa Andrew

Muluŋamya wa mikolo

0702740754

andrewzziwa2023@gmail.com

Tags :

admin

Related Posts

Must Read

Popular Posts

Get in Touch

© Copyright 2024 by SWASS Multi-Services