What's hot

Ssemaka Alina Kusikirwa Muzukkulu We

Table of Content

  • Omukazi mwana wa mwanyina oba muganda we
  • Okulonda abasika mu nju endala kyayambanga nnyo okunyweza obumu mu bika byaffe.

Nazikuno ne leerong’omuntu omukulu bwaffa wano mu Buganda naddala nga afudde alese ezadde twamwabiza olumbe. Nga  emikolo emirala egy’obuwangwa n’ennono olumbe okutuuka okwabizibwa wabeerawo emitendera egiyitibwamu okusobola okulaba ng’ensonga eno etuukirira.

Ogumu omutendera oguyitibwamu gwe gw’okutambuza olumbe. Mu kino ab’enju omugenzi mwava besitula ne bagenda mu bakulu mu kika nebabategeza nti muzzukulu wabwe gundi yafa era abaana basaba okwabizibwa olumbe amaziga gave mu nju.

Abakulu b’ekika bwebategezebwa ku nsonga eno emirundi egisinga baberako byebabuuza ebifa ku mugenzi ssinga babeera tebabimanyiko omuli oba omugenzi yaleka ekiraamo era bantu ki abakirina-kino bwekiberawo kyanguyiza abakulu bano ku nsonga nnyingi era kibeera kiddamu ebibuuzo omuli omuli omuwendo gw’abaana, banamwandu, ebyobugagga era n’ani gweyawa obusika.

Omugenzi  bwabeera teyaleka kiraamo awo nno waliwo emitendera egiyitibwamu okulonda omusika ono nga emirundi egisinga abaana abawala bazaala bebatuula ne balonda mwanyinabwe gwebalabamu empeke anasobola okubagatta n’okubakumakuma awatali kubasosolamu ne bamutika obuvunanyizibwa obwo era olukiiko luno lutuula ku lwokutaano ekiro nga enkeera ku lwomukaaga kwekusaako omusika.

Wadde nga ebyo biri bityo era nga bikolebwa tusaana tukimanye nti nnono n’obuwangwa obutuufu ssemaka asaana kusikirwa muzzukulu ssi mutabani we. Mu buwangwa bwaffe omwana bwadda mu bigere bya kitawe abeera afuuse taata era ne bannyina wadde baganda be kyekitiibwa kyebatandika okumuyita. Kino kitegeeza ne nnyina abeera alina muyita lya mwami ekitasoboka nakamu kuba ono abeera mwana we gwebamusala ku kyenda.

Awo nno okwewala okubutabutana kuno mu nsonga z’obusika awo bajjajjaffe bafubanga nnyo okulaba nga ssemaka asikirwa muzzukulu we ow’omwana omulenze oba bwewaberangawo embeera yonna nga wakiri asikirwa muganda we.

Omuzukkulu ono oba muganda wa ssemaka namwandu babeera bamuyita mukyala wabwe mu nnono n’obuwangwa bwaffe era mu nnyumba ye n’omugenzi betaaya bulungi era buli wamu batuuka bulungi awatali kutya nti wayinza okuleetawo obuko.

Kyokka omwana w’omugenzi bwabeera yamuddidde mu bigere naddala nga mu kiseera wawereddwa ekifundikwa nga yali yawasa dda mu nju yakitawe abeera takyetaaya kubanga abeerako obuko.

Tusana tukimanye nti okusikira omuntu obeera tosikidde byabugaga bwe okugyako nga yakirambika mu kiraamo kye nti asikidde omusaayi gwe era nebyobugagga byonna abimuwadde, Kale nno omusika obukulu bwe kwongerayo lulyo mwava oba omusaayi ggwe wadde ng’ensangi zino bebawa obusika badda mukujubanira maali za bagenzi awatali kuwaayo budde kwefumitiriza ku buvunanyizibwa obukulu omuli:- okwongerayo erinnya ly’enju gyasikidde, okukumakuma bamulekwa ne banamwandu, okutabaganya abasowaganye  wamu n’okukuuma emmaali y’omugenzi.

Olwokunyweza obumu mu bika byaffe bajjajja ffe era bafubanga nnyo oluusi okulonda abasika mu nju oba empya ez’enjawulo era kino kyayambangako ekika okwongera okumanyagana kuba enju z’ekyaliranga olw’obuvunanyizibwa bweberinangako obutali bumu era kyalinga kizibu okwekolako obulabe wadde okweroga. Enkola eno ku mulembe  guno eddibiziddwa nnyo kyovva olaba abaana   bemanyi kukoma ku nju mwebava era tebamanyi wadde baganda babwe okuva mu bakitabwe abalala ekiretedde ebika byaffe okwetematemamu ekisuuse.

Kuludda olw’omukyala naye bwava mu bulamu bw’ensi eno nga yaleka ezadde naye ab’ekika kye batambuza olumbe era naye natekerwako omusika okuva mu kika kye. Ono ayinza okubeera omwana wa mwanyina amuyita Ssenga oba muganda we. Tusaana tukimanye nti mu nkola entuufu olumbe lw’omukyala lulina kwabizibwa wabwe kyazalibwa mu kika kye eno gye yafumbirwa lwabirizibwayo bwabirizibwa enkeera nga bamaze okusaako omusika era omusika ono nagya alagibwa awaka walina okulerera abaana era nabagabula. Kino nno tekitegeeza nti omusika aze kutwala maka sinakindi kufumbira mulangambi (omwami afiriddwako mukyalawe) wabula abeera alagiddwa awaka walina okutuuliza bamulekwa ssinga wabeera ensonga oba yassanyu wadde ennaku.

Ensobi okukolebwa abantu abangi oba olutentezi tekigifuula kituufu kale nsaba awasanidde tutelezemu ku lwobulingi bw’enju n’ebika byaffe olwo Buganda lwejja okudda ku ntikko.

Wangaala ayi Ssabaasajja

Zziwa Andrew

Omuwandiisi  musomesa era muluŋŋamya wa mikolo

andrewzziwa2023@gmail.com

0702740754

Tags :

admin

Related Posts

Must Read

Popular Posts

Get in Touch

© Copyright 2024 by SWASS Multi-Services